Hon. Betty Nambooze Bakireke azeemu ebbaluwa ya Chameleon eri President Museveni

Ssebo mukulu Chameleon eyayimba Kipepewo,

Nzuukuse enkya ya leero nensanga ebbaluwa yo eri President Museveni nga esaasana ku mikutu egyenjawulo nga wegayirira Pulezidenti gwe wayimbira Tubonga naawe asonyiwe Hon. Kyagulanyi.

Chameleon mu bbaluwa yo osaba Presidnet Museveni okusonyiwa Hon. Kyagulanyi nga Taata olw’okusobya. Ssebo Chameleon osobola okunyamba ombuulire mpozzi n’abalala abayinza okubeeranga nga nze nga tebamanyi omusango Bobi gweyakoze olyoke osabe Pulizident amusonyiwe.

Ssebo Chameleon, nsuubira ojjukira bulungi Omuyimbi agambibwa okwokya omugenyi, ekituufu kiri nti Omuyimbi ono tali mukomera ndowooza lwakuba President yamusonyiwa wabula ye Kyagulanyi talina gweyasse, yawambiddwa okuva mu wooteri mu Arua.

Kati ssebo mukifo ky’okuddawo okusaba ekisonyiwo ky’abantu abakwatiddwa nebatulugunyizibwa nga tewali misango mituufu gibavunaanwa, gamba President wo ave ku Bannayuganda naddala abo ab’omulembe guno beyagalire mu ddembe lyabwe eryabaweebwa Katonda.

Ssebo Chameleon ninze ebbaluwa yo esinga nga ko ng’ogiwandiikira Mw. Museveni. Tosalira munno musango nga osuuta obwannakyemalira nga wefuula alumirirwa ennyo.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

27 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

3 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon