Waluŋŋama ekirooto kye tekyatuukiridde

Ng’omwana omuto yenna, Grace Waluŋŋama yalina ebirooto. Ebiseera ebimu yateranga okumpangulula n’oluvannyuma nazzaawo ebintu eby’amasanyalaze okugezaako okutuukiriza ekirooto kye.
Olunaku lumu, yagamba mikwano gye nti luliba olwo nga akuze alikola emotoka. Ekirooto kino takituukirizza kuba ku emyaka 30, yagiddwa mu bulamu bw’ensi nga 18-November-2020 omusirikale yanyonyogedde omugemerawala namukuba amasasi agamujje mu budde abasirikale bwebabadde bazinzeeko galagi mwabadde akolera e Kosovo, Lungujja.
Abebyokwerinda ababadde bagezaako okukkakanya obwegugungo obwabaluseewo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine omu ku bbo yeyakube Waluŋŋama amasasi agamutiddewo. Waluŋŋama nga muyizi mu ttendekero lya Kyambogo nga abadde asoma Mechanical Engineering abadde ku ‘internship’ mu Galagi e Kosovo.
Waluŋŋama yasooka nayimirizaamu okusoma kwe emyaka egiwerako okugezaako okunoonya akawogo nga yakolako ne mu Fenon Events. Wabula mu 2019 yasalawo okuddayo ku somero n’essuubi nti agenda kutuukiriza ekirooto kye.
Ku lunaku lwattibwa, kigambibwa nti abasirikale 3 balumba galagi Waluŋŋama mw’abadde akolera nga bagamba nti bano bebadde bawa abekalakaasa ebipiira ebyokwokya n’okuziba oluguudo.
Okusinziira ku yerabirako n’agage agamba nti Waluŋŋama bweyalaba abasirikale nakka ku maviivi ge nabategeeza nti Galagi teyalina mukono gwonna mu kwekalakaasa, omu ku basirikale namulagira agende aggyewo ebipiira mu kubo ebyali bizibye oluguudo oba nga ddala yali akakasa nti teyetabye mu kuziba ekkubo. Yegayirira bamusonyiwe nga agamba nti kyali kyabulabe ye okugenda okuggyawo ebipiira ebyali bikumiddwa. Ono ayongerako nti omu ku basirikale amanyiddwa nga Emma yali amanyi Waluŋŋama, bwatyo Waluŋŋama namwegayirira amulekere obulamu, Emma natayamba.
Wabula omusirikale omulala eyalina ebirowoozo ebirala yakuba Waluŋŋama essasi mu bulago n’eddala mu kifuba nanigiina nga embuzi eyasizza entamu nafuluma galagi nga agenda akuba amasasi okugumbulula abantu abaali bakuŋŋanye. Oluvannyuma Uganda Police Force yajja okutwala omulambo gwa Waluŋŋama wabula abatuuze n’emikwano gya Waluŋŋama nebabagaana okugutwala.
Agava mu nsonda ezimu galaga nti omusirikale eyakuba Waluŋŋama bweyabuuzibwa nti Abakulu yategeeza nti Waluŋŋama yattibwa musirikale mulala sso si ye.
Waluŋŋama yaziikiddwa nga 20-November-2020 bwekityo n’ekirooto kye ekyokufuuka Engineer bwekyaziridde!

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Tukubiriza Bannayuganda mwenna okwenyigira mu mulimu gwokubala abantu kuba ebinavaamu byakuyamba Gavumenti okuteekerateekera obulungi Eggwanga.

Tukubiriza Bannayuganda mwenna okwenyigira mu mulimu gwokubala abantu kuba ebinavaamu byakuyamba Gavumenti okuteekerateekera obulungi Eggwanga. ...

5 0 instagram icon
Isa Ssekitto omu ku bakulembeze babasuubuzi ngayogera mu lukungaana lwa basuubuzi nga basisinkanye ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Isa Ssekitto omu ku bakulembeze babasuubuzi ngayogera mu lukungaana lwa basuubuzi nga basisinkanye ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. ...

40 3 instagram icon
#Ekikadde Live Ku Simba 97.3 Omwana Sureman Kwali Atukuba Hit Ku Hit Til 4pm Nawe Saba Akayimba Ako Akakadde Koyagara Akusabulile Kati Kati 
#DsSundayBluTkBusula
#1JuneRadioSimbaKuNimrod

#Ekikadde Live Ku Simba 97.3 Omwana Sureman Kwali Atukuba Hit Ku Hit Til 4pm Nawe Saba Akayimba Ako Akakadde Koyagara Akusabulile Kati Kati
#DsSundayBluTkBusula
#1JuneRadioSimbaKuNimrod
...

3 0 instagram icon
Live Now 🤟🔥🔥97.3 Tubuuza Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #BaPhamacry Abatunda Eddagala Eyo
#12blutikebusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#radiosimba973

Live Now 🤟🔥🔥97.3 Tubuuza Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #BaPhamacry Abatunda Eddagala Eyo
#12blutikebusulatujjatujja
#1junenimrodbeachluweero
#radiosimba973
...

5 0 instagram icon
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi.  Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu."

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyabadde ayogerako eri abasuubuzi ku nsonga ya EFRIS; "Nina emyaka 80 natera okugenda mu ggulu. Mwe mukyali bato era mukyalina emyaka mingi ku nsi. Mwemujja okubonaabona singa tetuteerateekera bulungi Ggwanga lino okubasobozesa okulibeeramu." ...

20 3 instagram icon
Naye Tumbeetu!?

Naye Tumbeetu!? ...

68 1 instagram icon