UTB YAKOZESA OBUKADDE 20 OKUTWALA EKANZU, GOMESI, LEESU N’EBIRALA E DUBAI

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobulambuzi n’obusuubuzi olunaku olwaleero kebuzizza ku ngeri amakampuni gyegalondebwamu okugenda okwolesa mu mwoleso gwa Expo 2020 Dubai, ani yabasuubuza Leesu, Gomasi ne Kanzu n’ebintu ebirala byebatwala okwolesa. Ababaka era bakizudde nti akatambi akakolebwa akampi Uganda Tourism Board-UTB kamalawo obukadde 5.
Akakiiko era kakizudde nti UTB yakozesa obukadde 7 okutwala ebyambalo okuli; Leesu, Gomasi ne Kanzu n’ebintu ebirala okubitambuza okubitwala e Dubai ekyabamalako obukadde 20.
Ababaka bebuuzizza lwaki okutambuza ebintu ebintu kwamalawo ensimbi kumpi zezimu nezakozesebwa okubigula.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply