UPDF egenda kujanjaba Bannamawulire abakubiddwa – CDF Gen. Muhoozi

Omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF CDF Gen. David Muhoozi avuddeyo enkya yaleero neyetondera Bannamawulire abakubiddwa abamaggye olunaku lw’eggulo era nategeeza nga bwebagenda okukangavvulu abasirikale baabwe abo abakikoze mu naku bbiri ajjakuba avaayo okuwa ekituukiddwako.
Gen. Muhoozi era ategeezezza nga UPDF bwegenda okusasulira obujanjabi bwa Bannamawulire abakubiddwa. Bwabuziddwa oba kino bakikola mu bugenderevu n’oluvannyuma nebavaayo nebetonda agambye nti ekyo sikituufu nti era Bannamawulire tebasobola kubeera balabe ba Gavumenti n’olunaku n’olumu kuba babetaaga.
Wabula kinajjukira mu nti mu August 2018 oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mu Arua wamu ne Bannakisinde kya People Power mu kiseera ekyo, Bannamawulire abavaayo okukwata okwekalakaasa okwali kugenda mu maaso bakubwa abasirikale ba UPDF. Eyali omwogezi wa UPDF mu kiseera ekyo (Updf Spokesperson) Brig. Richard Karemeire yavaayo mu bwangu nategeeza nga CDF bweyali alagidde abasirikale bonna abenyigira mu kukuba Bannamawulire bakwatibwe, ekyenaku nti bino byonna bibaawo nebirala ebibyefaananyiriza nebituukawo oluvannyuma lw’emyaka naye mpaawo kikolebwa!
#JournalismIsNotACrime
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply