Minisitule y’Ebyensimbi evuddeyo netegeeza nti okusalawo okwakolebwa obutaggya ku Babaka ba Palamenti musolo ku musaala gwebafuna kyaviirako Uganda okufiirwa ensimbi obuwumbi 638 n’obukadde 600 mu misolo mu myaka 5 egiyise. Kino kyaddirira okukola enongosereza mu tteeka eya Income Tax Act mu 2016 Ababaka webakiririza okuggyawo omusolo ku nsimbi zonna nga bagamba nti baali bagezaako okukendeeza akazito ku Babaka akokusasula emisolo so nga balina ensimbi zebasaasaanya mu bantu.
Ebitongole ebirala ebyasonyiyibwa kuliko; essiga eddamuzi, UPDF, Uganda Police Force, Uganda Prisons Service wamu n’ebitongole byeyokerinda ebirala.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.