Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 621 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Bassentebe ba FDC abawangulwa balemedde mu offiisi

November 8, 2023 · Mubiru Ali
Wabaluseewo olutalo mu bakulembeze b’ekibiina ki Forum for Democratic Change oluvannyuma lw’abamu kuba Ssentebe b’ekibiina kino mu Disitulikiti ez’enjawulo okujeema okuzzaayo sitampu z’ekibiina n’okuwaayo woofiisi mwebabadde bakolera emirimu.
Kino kiddiridde Ssaabawandiisi wa FDC ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi, Nandala Mafabi okufulumya ekiwandiiko ekiragira ba Ssentebe b’ekibiina mu Disitulikiti zonna abawangulwa okuwaayo sitampu z’ekibiina ssaako ne woofiisi bunnambiro.
Mu kiwandiiko kino bano balagirwa kino kukikola obutasukka nga 17 omwezi guno era omuntu yenna anagaana okukituukiriza omukono gw’amateeka gwakumukolako.