Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo wano e Bukoto ku Simba. News: Two children were killed and three others injured in a stabbing attack at Kalungu Bunga, Ggaba Parish in Makindye Division early Thursday morning. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 360 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Uganda eyimbule abantu baffe – Rwanda

September 16, 2019 · Mubiru Ali
Abakungu okuva mu Gavumenti ya Rwanda ne Uganda olunaku olwaleero basisinkanye mu kibuga Kigali okuvaayo n’amagezi mwebagenda okuyita okumalawo endoliito wakati w’amawanga gombiriri.
Amb. Olivier Nduhungirehe, Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za East Africa owa Rwanda yakulembeddemu abakungu okuva e Rwanda bwetyo yo Yuganda nekulemberwa Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kahamba Kuteesa.
Abakungu okuva e Rwanda kubaddeko Major General Frank Mugambage, High Commissioner to Uganda, Anaclet Kalibata, the Director-General of External Intelligence ku National Intelligence and Security Services, Anastase Shyaka, Minister of Local Government, Johnston Busingye, Minister of Justice and Attorney General, Major General Joseph Nzabamwita, Secretary-General National Intelligence and Security Services.
Abakungu okuva e Rwanda bawadde Uganda olukalala lwa Bannansi baayo abasubirwa okubeera mu makomera ga Uganda, bwatyo Minisita Kuteesa nategeeza nti Gavumenti yakusooka kwekeneenya lukalala luno nga yeyambisa ekitongole ekiramuzi okulaba oba nga temuliimu bazzi bamisango.