ABALINA EBIZINDAALO KU BYALO MULYE KAMANYE;
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Ggwanga ekya Uganda Communications Commission – UCC kitandise ebikwekweto byokubowa ebintu ebikozesebwa ku Leediyo zo mubitundu ezakazibwako ery’ebizindaalo.
UCC egenda ebowa ebizindaalo bino wamu n’ebyuuma ebikozesebwa okwogererako. Ebitundu ebyakolebwako ebikwekweto wiiki ewedde kuliko; Kyebando, Kirnnya, Mbuya, Bukasa, Kiwanga, Lugala, Namalere ne Kasangati.