
Okulwala mukuggyeemu ebyobufuzi – Minisita Ogwang
31 — 05
Guludde Okulya ye Pulezidenti wa Neyimbira Byange 2025
8 — 06Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road azizzaayo mbega wa Uganda Police Force ASP Charles Twine n’omuwagizi wa National Unity Platform Noah Mutwe ku alimanda mu kkomera e Luzira okusobozesa Poliisi okumaliriza okukola okunoonyereza mukugezaako okukuma omuliro mu bantu.
Bano bali bataddeyo okusaba kwabwe okwokweyimirira era nga babadde baleese ababeyirmira okuli abeŋŋanda wamu n’emikwano.
Twine avunaanibwa okukozesa obubi omutimbagano ngaweereza Noah Mutwe obubaka obumukumamu omuliro okutta omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba ngabakuba ppeeva.
Bano era bavunaanibwa okusaasanya obubaka obwobukyaayi ku Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among wamu n’omumyuuka we Thomas Tayebwa, Abalaalo wamu ne General wa UPDF.
Omulamuzi Ronald Kayizzi alagidde bano bakomezebwewo mu kkooti nga 17-June okusobozesa oludda oluwaabi okwekeneenya ebiwandiiko byabo abaagala okubeyimirira.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
Webale Kuwuliriza Radio Simba. Tosubwa NAMUDOMOLA! November nga 12