Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 95 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Abagambibwa okuvuma Pulezidenti Museveni ku mukolo bakwatiddwa

April 9, 2024 · Mubiru Ali
Bammemba ba Crane Performers 8 bakwatiddwa lwakuweerekereza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bigambo bimunyomoola ku mukolo gwa Mbabazi gweyategese ngajaguza emyaka 50 mu bufumbo.
Kigambibwa nti Pulezidenti bweyatandise okwogera ku ssaawa nga ttaano ezekiro bano balekaanye mu Runyakole nti; “Rutabandana Waturusya Rugahamuzindaro” ekivvuunulwa nti; “Oyogedde nnyo, tukooye, vva ku muzindaalo.”
Lt Tonny Komakech, ow’eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC) agamba nti yalabye aba Crane Performers nga bavuma Pulezidenti.
Abebyokwerinda babakwatiddewo ne Ddayirekita waabwe Gordon Kayovu. Abalala kuliko; Edward Tugume, 37, David Muvunyi, 47, Walter Oleng, 38, Simon Bebwa, 27, Paul Ruduli, ne Tonny Okello. Nga bakuumirwa ku CPS mu Kampala.
Story Credit; The Observer