TWAYAGALA SSENTI ZEMWAWAYO ZIKOLE EKINTU EKIRABWAKO – HE. MUSEVENI

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lw’eggulo yasimbudde mu butongole emotoka 282 okukenda okukozesebwa mu kulwanyisa ekitwadde kya Ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa COVID-19 okwetoloola eggwanga lyonna. Emotoka zino zaguliddwa mu ssente ezaweebwayo abantu ab’enjawulo Gavumenti bweyavaayo nesaba Bannayuganda okuwaayo okusobola okulwanyisa COVID-19.
Pulezidenti yagambye nti yali ayagala ssente zino zikole ekintu ekirabwako. Ku kya Bannayuganda okuwaayo yambye nti kituukiriza ekiruubiriwa kya National Resistance Movement – NRM ekyokukiririza mu Bafirika okwemalira ebizibu byabwe.

Add Your Comment