Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

TUMUKIRIZZA KUBAWA DDAGALA LIGEMA COVID-19 LISIGAZZAAYO BBANGA TTONO OKUGGWAKO – HON. ODUR

September 9, 2021 · Mubiru Ali
Omubaka Munnakibiina kya Uganda Peoples Congress Hon. Odur Jonathan nga yakiikirira Erute Country South Lira Disituliki avuddeyo nategeeza Palamenti nti National Medical Stores, Uganda bwegabidde ebifo ebyenjawulo mu Ggwanga awagemerwa abantu ekirwadde kya COVID-19 eddagala lya AstraZeneca lyagamba nti lyaggwako.
Omubaka agamba nti Ministry of Health- Uganda yagambye nti eddagala lino balikozese. Wano Omubaka wasabidde Minisitule y’ebyobulamu okuggyayo mu bwangu eddagala lino, era asabye Gavumenti obutakiriza ddagala libaweebwa nga lisigaddeko ebbanga ttono okuggwako.
Ye Minisita Hon. Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo nategeeza Palamenti nti agenda kunoonyereza ku nsonga eno, wabula nakinogaanya nti tewali ddagala lyonna erya AstraZeneca lyagabiddwa mu Ggwanga nga liggwako mu August 2021 wabula nategeeza nti ddala kituufu waliwo eddagala lya AstraZeneca eriggwako nga 30/09/2021.