Tuleela etomereganye ne loole e Lwakima

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka ASP Faridah Nampiima avuddeyo ku kebenja akagudde mu Mabira enkya yaleero; “Poliisi mu Mabira enkya yaleero etegeezeddwako ku kabenje akabaddemu Loole box body nnamba UBG 609L ne Tuleela nnamba KBU 465J/ZC 7705. Akabenje kano kagudde Lwakima okuliraana Oryx Fuel Station ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kampala mu Disitulikiti y’e Buikwe.
Ebyakazuulwako biraga nti Ddereeva wa Tuleela abadde ava Jinja ng’adda Kampala bwatuuse mu Climbing Lane y’e Lwakima, nayisa mu lane eyookusatu ey’emotoka eziva e Kampala okudda e Jinja natomeregana bwenyi ku bwenyi ne Loole ebadde evugibwa Kamya Kabonge Elias emotoka zombi neziggwa.
Ddereeva wa Tuleela ne turnman we baddusiddwa mu Ddwaliro ly’e Jinja okufuna obujanjabi.”
Share.

Leave A Reply