Tujja kugala ekizimbe kyetunasanga nga kirina abasuubuzi ku mbalaza – RDC Hudu Hussein

RDC wa Kampala Hudu Hussein yavuddeyo nategeeza nga bwebakyalina emidaala mu katale ka Usafi nga girindiridde abasuubuzi okugikoleramu. Ayongeddeko nti ne Haruna Ssegawa yateekawo emidaala 300 mu Katale nga abasuubuzi bakumala emyezi 6 nga tebasasula.
Yayongedde era nategeeza nga ebikwekweto byabakwasisa amateeka mu Kampala Capital City Authority – KCCA bwebigenda okugendera ddala mu maaso nti era tebajja kulonzalonza kugoba Enforcement Officer yenna bwebanasanga nga abatembeeyi bakolera ku nguudo mu kitundu kyatwala.
Ye nannyini dduuka oba kizimbe yenna anasangibwa ngakirizza abantu okukolera ku mbalaza ajja kusasula engasi eyamaanayi oba okuggalawo edduuka lye oba ekizimbe. #ForABetterCity
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply