Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 819 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Tugenda kubaddiza obusente bwammwe obuwumbi 2 – Ababaka okuva mu Acholi

February 13, 2022 · Mubiru Ali
Ababaka ba Palamenti okuva mu ttundutundu ly’e Acholi bavuddeyo nebategeeza nga bwebagenda okuzza akawumbi akamu n’obukadde 700 mu kittavvu kya Gavumenti bwekiba nga kyekigenda okusanyusa Bannayuganda bave ku Sipiika Jacob Oulanyah.
Wiiki ewedde Palamenti yasaasanya emitwalo gya ddoola 50 okubuusa ennyonyi y’abantu 252 eya Uganda Airlines Airbus okutwala Oulanyah n’aba Famire ye abatonotono wamu n’abamulabirira okubatwala mu Seattle mu Amerika okufuna obujanjabi.
Bannayuganda bavaayo nebewuunya engeri ensimbi y’omuwi w’omusolo enyingi bwezityo gyeziyinza okusaasanyizibwa ku muntu omu so nga ebyobulamu mu Ggwanga ebiyamba Bannayuganda abawejjere abatasobola kutwalibwa mitala wamayanja kujunjabwa byeralikiriza.
Kati bano Ababaka bagamba nti bagenda kwesonda bazizze oluvannyuma lwa Bannayuganda okuvaayo nebekalakaasa ku nguudo mu Seattle nga balaga obutali bumativu bwabwe. Bano era balumiriza ekibiina kya National Unity Platform NUP okukunga abantu okwekalakaasa mu Seattle.