Ttiimu yange yakamala enaku 71 mu Kkomera

Pinterest LinkedIn Tumblr +
ABANTU BANGE BAWEZEZZA ENAKU 71 MU KKOMERA;
Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Olwaleero ziweze enaku 71 bukyanga ttiimu yange yonna gyenali noonya nayo akalulu ekwatibwa netwalibwa mu kkomera e Kitalya nga bavunaanibwa emisango egitategeerekeka era bakyavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye. Bateebwa ku kakalu ka Kkooti e Masaka nebaddamu nebakwatibwa Military batulugunyiziddwa ebitagambika, era tukyewuunya lwaki abantu abakwatiddwa olw’ensonga z’ebyobufuzi obutatwalibwa mu Kkooti z’abantu babulijjo.”
#PlenaryUgi
Share.

Leave A Reply