Tag: katonga

Abalamazi UNRA ebateereddewo olutindo basobole okusala Katonga

#KatongaUpdates Libadde ssanyu gyereere ng'ekibinja ekisooka eky'Abalamazi basala omugga Katonga ogwabbomoka nga wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'enguudo mu Ggwanga ekya Uganda National Roads Authority - UNRA kyataddewo olutindo olwakaseera okusabozesa Abalamazi okusala okweyongerayo n'olugendo lwabwe nga boolekera Namugongo.

Pulezidenti Museveni alambula Greater Masaka

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero aguddewo mu butongole ettendekero lya Greater Masaka Industrial Skilling Hub. Ekifo kino kyakutendeka ku bwereere abavubuka abali wakati w'emyaka 18-35 okuva mu Disitulikiti 9 emirimu egyemikono.

Abalamazi babateereddewo olutindo okusala Katonga – Minisita Katumba Wamala

Minisita avunaanyizibwa ku by'enguudo n'entambula Gen. Edward Katumba Wamala avuddeyo nagumya abalamazi abakozesa oluguudo lw'e Masaka okudda e Namugongo nti bagenda kubateerawo olutindo olw'akaseera lubasobozese okusala omugga Katonga. Era asabye Bannayuganda okubeera abaguminkiriza nga Gavumenti bwekola kyonna ekisoboka okudaabiriza olutindo olwaggwamu okusobozesa eby'entambula…