
Abakoze akatambi ka Tik Tok nga bakaalakaala nejjambiya mu Restaurant bakwate
2 — 07
UCAA etongozza Business Class Lounge empya
4 — 07Rtd. Brig. Gen. Emmanuel Rwashande avuddyo neyegaana ebyokulagira amaggye okukuba abantu amasasi e Lwemiyaga wiiki ewedde agaviirako Fred Ssembusi okuttibwa nabalala nebalumizibwa okwali negwebavuganya naye Omubaka Theodore Ssekikubo.
Brig. Gen. Rwashande agamba nti abawagizi ba Ssekikubo bagamba nti babasomba kuva Kawempe okugenda e Ssembabule bebatandika okukola effujjo nebalwana n’abamaggye nti era embeera yasooka kubeera ya mirembe nga tebanatankuula b’Amaggye bwebalumba nebabaggyako emmundu.
Rwashande agamba nti abasirikale ba UPDF baali bakozesa miggo okukuuma emirembe nti wabula omusajja omu bweyalumba omusirikale nalwana naye nakuula magazine ku mmundu ye kyekyaleeta obuzibu..
Ono agamba nti yewuunya Ssekikubo okumulumiriza okulagira abasirikale okukuba abantu so nga ne mu kifo bino webyali ye teyaliiwo yadde omuduumizi we. Ono alumiriza Uganda Police y’e Lwemiyaga gyagamba nti ebikirira Ssekikubo ngekweka obujulizi. Ayongerako nti Ssekikubo yakuba abawagizi be naye Poliisi negaana okumuggulako omusango era yasazeewo kuddukira ku Poliisi e Masaka gyaba aggulirawo omusango.