Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya
National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad avuddeyo nasaba omulamuzi wa Kkooti Ento e Masaka Nzwere Philip ayise ekiwandiiko bakuntumye ekikwata omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard nga agamba nti ayitirizza okulimba Kkooti.
Hon Ssegiriinya era ategeezezza nti olunaku lw’eggulo yakubiddwa emiggo mu kkomera gyali nganabuli kati tamanyi lwaki yakubiddwa, ayongedeko nti nembeera gyalimu mu kkomera e kigo sinnungi abakulira ekkomera bagaana okubakiriza okufuna obujanjabi ate nga nabenganda zaabwe babagana okugenda mukkomera okubalaba.
Ye Mubaka munne Hon. Ssewanyana Allan naye asabye omulamuzi abakyuusize ekkomera bazze awalala kuba babonaabona nga nemukadde webabaleetedde mu kaguli emmundu ezabuli kika zibebunguludde buli wamu, kyokka Hon. Ssewanyana abadde akyanyonyola ebyuuma bya zoom nebivaako kyokka oluvannyuma bikomyewo olwo nanyonyola ensonga ze omuli embera embi nebirala
Ye omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard ategezeza Kkooti nti waliwo abantu abamutiisatiisa okumutta. Waliwo nabasibe abalala abakwatibwa n’Ababaka bano nabo basabye Kkooti ebayimbule kuba emisango egibavunaanibwa tebagimanyiiko.
Bano bakudda mu Kkooti nga 2-2-2022.
Bya Maggie Kayondo
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.