Ssegiriinya ali mu bulumi bungi nnyo – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platfrom Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu Robert aka @Bobi Wine; “Twakyalidde ku Hon. Muhammad Ssegiriinya mu Ddwaliro e Mulago gyali kati okumanya embeera mwali wamu n’okumuzzaamu amaanyi. Yatutegeezezza nti alina obulumi bungi mu kigere era alina n’obuzibu mu kussa. Tukitegeddeko nti abakulu mu Gavumenti wamu ne Bannabyabufuzi bangi bagenda mu kasenge mwali nga bamukaka okwetondera Pulezidenti Museveni wamu n’okuva mu situlago oba si kyo tajja kuyimbulwa. Anzizzaamu amaanyi nti wadde ali mu mbeera yabulumi naye akyali muvumu.”

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply