Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 247 listening Simba FM Live

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Prof. Christopher Magala Ndugwa

January 27, 2022 · Mubiru Ali
Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Prof. Christopher Magala Ndugwa olwokufiirwa omuntu waabwe.
Obubaka bwa Beene busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusaba kw’okuwerekera omugenzi mu Kanisa ya St. Mark e Mutundwe.
Mu bubaka bwokusaasira bwaweerezza eri Namwandu wamu n’ab’enju ya Ndugwa, Ssaabasajja agambye nti,
“Twafunye amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa mukwano gwaffe Dr. Christopher Magala Ndugwa omusika wa taata wammwe, kitalo nnyo. Tukusaasidde nnyo wamu ne bagandabo olw’okufiirwa mwanyinammwe abadde empagi luwaga mu nnyumba y’omugenzi Dr. Ndugwa.
Mu ngeri yeemu ntuusa okusaasira kwange eri Mukyala Robina Mubiru olw’okufiirwa omwamiwe era tukubagiza n’abenganda bonna olwokufiirwa kuno okunene.
Omugenzi abadde mukwano ggwange owannamaddala okuva lwetwamanyigana emyaka mingi ejiyise, kyakusaalirwa kungi nti munnaffe Christopher atuvudde ku maaso nga tukyali mu kiyongobero kya munnaffe Godfrey Kaaya Kavuma, mu mbeera eno tusabiragane Mukama atusibe ekimyu okugumira ebizibu bino”.
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza omugenzi olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe munju ya kitaawe, ng’omusawo omukugu ate nga omugave atatiiririra Kabaka we. Amwebazizza olw’obunyikivu mu kitongole kyokulwanyisa mukenenya e Mulago.
Prof. Ndugwa, omugenzi Hajji Bulayimu Muwanga Kibirige ne bannaabwe abalala bebaleeta ekirowoozo ewa Kabaka okudduka emisinde gyokulwanyisa Nalubiri. Era be baatandikawo ekibiina kyokulwanyisa Nalubiri ekya Sickle cell rescue foundation.