Ssaabalabirizi Ntagala agaaniddwa okuddamu okubuulira

Ssaabalabirizi wa Church of Uganda, Stanley Ntagali eyawummula ayimiriziddwa okukola emirimu gyonna egyekuusa ku Kkanisa kubigambibwa nti yayagala omukyala omufumbo.

Okuyimirizibwa kwa Ssaabalabirizi Ntagali kwakakasiddwa mu bbaluwa eyawandiikiddwa Ssaabalabirizi Stephen Samuel Kazimba Mugalu nga agiwandiikira olukiiko lwaba Bishop abali wansi wa Global Anglican Future Conference (GAFCON).

Mu bbaluwa Ssaabalabirizi Mugalu agamba; “Nina enaku okubategeeza nti omuntu gwenaddira mu bigere, Ssaabalabirizi eyawummula Stanley Ntagali, yazuuliddwa nti yayagala omukyala omufumbo naye yennyini kyeyakirizza. Kino kibi era Ssaabalabirizi alidde mu Katonda olukwe, Mukyala we, abaana be wamu n’ebirayiro byeyakuba ebyobufumbo wamu ne Bannayuganda n’abakurisitu bonna abaali bamwenyumirizaamu mu nzikiriza.”

Ssaabalabirizi Kazimba agamba nti Ssaabalabirizi Ntagali yaswazizza nnyo ne Offiisi ya Ssaabalabirizi.  Ssaabalabirizi Kazimba agamba nti eno si ssaawa yakutambuza lugambo wabula yakwetonda, okusaba ennyo wamu n’okwenenya.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply