sooka osiime nga tonanye muntu yewaddeyo – bobi wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; Kampeereze ekisimbulize kino eri abategeevu;
“Okusiima tekubeera kwoyo abeerawo okwogerera ensobi zabalala, oyo annyumya ku ngeri omusajja ow’amaanyi gyatagaddemu okutuuka kubuwanguzi, oba abo abasobodde okuvaayo okulwanirira abalala kyebandikoze ekisingawo. Okusiima kwoyo omusajja oyo ali mu ntabiro yabyonna, nga ajjudde entuuyo, enfuufu wamu n’omusaayi, oyo atakabanira okulaba nti wabaawo enkyuukakyuuka kuba tewali kikolebwa nga temuli nsobi oba emiziziko. Oyo eyewaayo mu byonna neyerekereza nga alwanirira ensona ey’omuzinzi era nga akiririza mu buwanguzi obwannamaddala ku nkomerero yabyonna.
Nga nebwalemererwa ku nkomerero abeera musanyuffu nti lwakiri agezezaako, nga era akimanyi nti siyoomu kwabo ab’emyoyo eminafu egyeyagaliza gyokka nga tegimanyi buwanguzi oba kulemererwa.” Theodore Roosevelt
Tulina ebyokukola bingi okununula eggwanga lyaffe. Wabula bwetubeera nga tetuvuddeyo kwenyigira mukununula eggwanga lino twalibadde tunenya kitono banaffe abavuddeyo neberekereza buli kimu omuli n’okuwaayo obulamu bwabwe okulaba nti eggwanga linunulwa. Tusobola okubalambika wamu n’okubawabula nga tetubakakanyizza.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

27 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

3 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon