Sizoni esooka eya 2021 tenatandika – Minisita Ssempijja

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Bamulangaki Ssempijja avuddeyo okuwabula abalimi ku sizoni. Minisita agamba nti mu kadde kano tufunayo enkuba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo so nga tulina kubeera mu kasana pereketya.
Minisita agamba nti enkuba eno teyesigika era nawabula abalimi okwetegekera sizoni esooka ey’omwaka 2021. Akubirizza abalimi okumaliriza amakungula ga sizoni eyokubiri ey’omwaka 2020 naddala ag’ebirime eby’empeke.
Akubirizza abalima okutandika okuteekateeka ennimiro webagenda okusiga sizoni nga basaawa wamu n’okukabala. Agamba nti okukabala okwokubiri kukolebwa luvannyuma lwa nnaku 14 naddala abo abakozesa tulakiti.
Share.

Leave A Reply