SIRAGIRANGAKO POLIISI KULEKERAWO KUNOONYEREZA – EMILIANO KAYIMA

Ebiriwo mu Disitulikiti y’e Lwengo biraga nti abagambibwa okulya ezamabugo obukadde 10 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyawa abantu abebijjambiya bebattira abantu baabwe bitwaliddemu n’omukulu omu mu Uganda Police Force.
Bino byazze oluvannyuma lwa Ssentebe wa Disitulikiti y’e Lwengo Ibrahim Almalik Kitatta okuvaayo nayewuunya omuntu akala nabba amabugo g’omuntu gwebattira omuntu we.
Kitatta bweyasisinkanye bebattira omuntu waabwe yategeezezza nga District Police Commander owa Disitulikiti y’e Lwengo Peter Twala bweyakwata abagambibwa okuzibba wabula nalagirwa eyali omwogezi wa Poliisi Emiliano Kayima okubayimbula era namulagira obutaddamu kunoonyereza ku musango guno.
Omugenzi Francis Ruhamyakaaka aka Mapengo aka Nkaaka owo ku kyalo Nakateete mu Gombolola y’e Kisekka yaziikibwa ku kyalo Dongwa mu Gombolola y’e Kisekka ku ttaka lya Ssentongo nga ono mukwano gwe. Nkaaka yali ava ku kyalo Gakoro mu Gombolola y’e Nyakabande mu Disitukiti y’e Kisoro.
Ssentongo agamba nti yafuna obukadde 10 okuva ewa Pulezidenti nga ow’oluganda lwa Ruhamyakaaka nti nazigabana ne Mbabazi ngono kigambibwa nti CID ku Mbirizi Police Station e Lwengo eyali akolera awamu ne Bannabyabufuzi abamutuusa mu State House oluvannyuma lwa Pulezidenti okulangirira nti agenda kugaba ssente.
Ssentongo agamba nti ba bbulooka abamutuusa mu State House batwalako obukadde 5 ng’omugabo gwabwe nebamulekera obukadde 5 bweyazimbamu ennyumba ku kyalo Dongwa.
Ye Emiliano Kayima agamba nti teyalemesa Poliisi kugenda mu maaso nakunoonyereza nti wabula yalagira abakwatibwa bateebwe ku kakalu ka Poliisi. Era agamba nti tabagaanangako kuziikula mulambo kugutwala.
Kayima agamba nti Ssentongo talina kunyigirizibwa kumuggyako ssente zeyafuna kuziwa famire y’omugenzi eyava e Kisoro kuba yaziika mukwano ggwe mu kibanja kye kuba ekyalo kyonna kyali kimusuddewo.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply