Sipiika abantu baffe bakyawambibwa – Bobi Wine

BAKYAWAMBA ABANTU BAFFE;
Omubaka akiikirira Kyaddondo East Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nnyabo Sipiika nga tutudde wano mirembe mu Palamenti tuteesa, njagala okubajjukiza nti Bannayuganda bawambibwa buli lunaku mu motoka ekika kya ‘drone’. Bakuumirwa mu bifo ebitategeerekeka mu nkambi za Military nga batulugunyizibwa.
Nnyabo Sipiika nkutegeeza nti olunaku lw’eggulo Kiwewa Tonny 24, nga mukubi wabifaananyi era Ssentebe w’Abavubuka ba NUP e Kibuli, ne Busonga Najjib bawambiddwa mu bukambwe abasajja ababadde babagalidde emigemerawala mu ngoye ezabulijjo.”
#PlenaryUg
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply