Sipapa Poliisi emuyigga lwabubbi – SCP Fred Enanga

Bambega okuva ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, bakoze okunoonyereza ku bubbi obwakoleddwa mu maka ga Munnansi wa Sudan Jacob Arok e Kawuku mu Bunga mu kiro kya 28-29 August 2022 era nebakwata abasuubira okwenyigira mu bubbi buno era nebaako nebintu byezudde. Kigambibwa nti ekibinja kyababbi bamenya nebayigira mu maka ga Arok nebabakuba kalifoomu nebabba ensimbi ddoola 429,000, essimu ekika kya Iphone 4, laptop za Apple 2, emikuufu ejazaabu ebya mukazi we, tv yinki 65 ekika kya SamSung n’ebintu ebirala.
Mukunoonyereza ba mbega basobodde okulondoola ‘iCloud signal’ ku ssimu emnu eyabbibwa nezuulibwa e Kiyo, Buwate mu Kira. Bwebakunyizza bebasanze mu maka babategeezezza nti ga Olimu Charles aka Sipapa atabadde waka nebategeeza nti yagenze Tororo. Bafuuzizza nnyumba nga ne Mukyala wa Sipapa Nakiyimba Shamira waali nebasangamu ebintu ebyabbibwa ewa Arok. Bino mubaddemu ddoola 70,000, Iphone 4. Laptop 3, emikuufu egyazaabu, charger ya Iphone, mac pro charger, nnamba za muotoka bbiri UBG 025B ne UBA 023U, ebyuuma byemotoka ebyenjawulo, tool box, sport rim 4, omutto gwemotoka ogwemabega, amataala gemotoka 12, indicator, bumper ya jeep, bumper ya V8, boot ya V8, enzigi, bonnet, radiator 3, oluggi lwa V8 olwemabega, grill 7, emotoka bbiri ekika kya Jeep ne Audi nga tezirina nnamba nga bazzeemu okuzifuuyira langi emyuufu nga zisangiddwa mu luggya lwe.
Abantu 4 okuli ne mukyala we bakwatiddwa. Ye Sipapa atandise okuyiggibwa abuuzibwe. Yasembye kulabibwako mu magombolola okuli; Nagongera, Soni ne Nawire, ngagaba ssente era ngakuumibwa bakanyama.
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga asabye oyo yenna ayinza okumanya Sipapa waali okutemya ku Poliisi emuli okumpi. Era alabudde ne Bakanyama batambula nabo nti yenna gwebanasanga naye wakukwatibwa olwokukuuma omumenyi wamateeka
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply