Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku lweggulo yeyamye okuwagira emirimu gya Orthodox Church egikulaakulanya abantu. Bino yabyogeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu n’abakungu mu State House gyayaniririzza His Eminence Metropolitan Jeronymos Muzeeyi, Archbishop omuggya owa Metropolis of Kampala.
Metropolitan Muzeeyi yalondebwa gyebuvuddeko okuddira omugenzi Metropolitan Jonah Lwanga eyafa mu September 2021. Omukolo gwokumutuuza mu butongole gwakubeerawo ku Sunday nga 20 February 2022 ku St. Nicholas Orthodox Cathedral, Namungoona, e Rubaga.
His Eminence Metropolitan Jeronymos Muzeeyi yazaalibwa March 18, 1962 e Bulopa, mu Disiutulikiti y’e Kamuli, Uganda mu famire ya Augustinos Kakombe ne Agnes Biribawa. Ye mukulu ku abaana 4 mu maka gano.