PULEZIDENTI MUSEVENI WAKULAYIRA NGA 12-MAY

Minisita Esther Mbayo; “Kantwale omukisa guno okutegeeza ensi yonna nti nga 12-May-2021, Yuganda yakulayiza omukulembeze waayo omulonde Yoweri Kaguta Museveni eyaddamu okulondebwa ku kisanja ekirala mu offiisi.
Pulezidenti Museveni yalangirirwa ng’omuwanguzi w’akalulu akaliwo nga 14-January-2021 n’ebitundu 58.38 ku 100 nga yalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda nga yawangula abaali bamuvuganya 10.
Omukolo gwakubeera ku kisaawe e Kololo mu Kampala nga gwakutandika ssaawa emu ey’okumakya.
Guno gugenda kubeera gwanjawulo nga gwa ‘scientific’ era nga abantu 4,042 bebayitiddwa bokka era nga bakugoberera ebiragiro ebyateekebwawo Ministry of Health- Uganda okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19 nga gwakubeerako abo bokka abayite. Bannayuganda abalala bakugulabira ku TV n’okuguwulira ku Leediyo.” #M7SwearsIn
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply