Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 178 listening Simba FM Live

Pulezidenti Museveni nnyamba omugagga atutte ettaka lyange

August 10, 2020 · Mubiru Ali
Waliwo omukyala agumbye ku maka gobwa Pulezidenti e Masaka oluvannyuma lw’omugagga okumugoba ku ttaka lye kwabadde n’amaka ngera kwalimira.
Mukyala Nyonyintono Immaculate 42 nga mutuuze ku kyalo Kyanjale mu Gombolola y’e Kabonera mu Disitulikiti y’e Masaka yasobeddwa eka ne mu kibira olwokugobwa mu maka ge n’abaana be babiri okuli ow’emyaka 2 no w’emyaka 5 nga kati ayagala Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni amuyambe.
Nyonyintono agamba nti wadde yatwala omusango ggwe mu Kkooti wadde ku Uganda Police Force e Masaka nayo teyafunayo buyambi bwonna.
Ye omugagga ayogerwako Frank Takaya eyasaawa emmere ye yonna nasaako n’okumukuba emiggo bwetugezezaako okumutuukirira agyeeko essimu.