Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuduumizi w’ebitongole byebyokwerinda byonna owokuntikko olunaku olwaleero awadde abasirikale ba Uganda Police 10 emiddaali egibasiimu nga bino byonna bibadde ku kisaawe e Kololo mukujaguza olunaku lw’abakozi olw’ensi yonna.
Emiddaali eibaweereddwa gibadde mu bitu bisatu; “Golden Jubilee medal, Honorary medal ne Long Service medal.”