Magistrates Court y’Entebe ngekubirizibwa Omulamuzi w’eddaala erisooka Stella Okwong Paculal evunaanye Pastor Aloysius Bugingo ne Mukyala we omuggya Suzan Makula emisango 3 egyekuusa ku Marriage Act.
Omulamuzi alagidde bano balabikeko mu kkooti nga 21-January-2022. Bano batwaliddwa mu Kkooti Munnamateeka Male Mabiriizi wamu ne Robert Rutaro Muhairwe nga babavunaana okwenyigira mu mikolo gy’obufumbo ku ntandikwa y’omwaka guno so nga Bugingo akyali mu bufumbo ne Teddy Bugingo.
Bugingo gyebuvuddeko yayitibwa ku Poliisi y’e Kawempe okwennyonyola ku misango gyokukola emikola gyokuwasa emiggya ngalina obufumbo bwatanamenyawo ne Teddy Naluswa Bugingo.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.