Poliisi yezoobye n’abatuuze e Buikwe

Poliisi y’e Ngogwe n’abaserikale ba LDU mu Disitulikiti y’e Buikwe basaanze akaseera akazibu okukkakanya abavuzi ba bodaboda n’abatuuze okuva ku siteegi ez’enjawulo ababadde bagumbye ku kubo erigenda ku kitebe ky’e ggombolola y’e Ngogwe ku luguudo oluva e Kisoga okudda e Jinja.

Bano babadde balaga obutali bumativu bwabwe olwa Poliisi okulwaawo okutuuka okuddukirawo omulambo gwa munaabwe ategereekeseeko erya Willy ng’abadde muvuzi wa bodaboda ku siteegi y’e Buwooya nga yatomeddwa emotoka n’afiraawo kusaawa nga nnya ez’okumakya wabula nga Poliisi okuva e Lugazi kigitwalidde esaawa ezisukka mu 4 okutuuka mu kifo kino.

Okusinziira ku batuuze bategezeeza nti Willy yatomeddwa motoka ekika kya TOYOTA COSA namba UBA 974X ku saawa nga zigenda mu nnya wabula nga zituuse kuwera saawa mwenda nga poliisi tenaba kuddukira mulambo gwa munabwe ekintu ekijje abagoba ba bodaboda n’abatuuze mu mbeera nebaagala okusiba omulambo ku pikipiki bagwetwalire era nga wano bawanyisiganyiza ebisongavu ne Poliisi nga bagilangira obutalaga buvunanyizibwa.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

18 1 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

4 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

2 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon