Uganda Police Force okuva Kira Road ekutte Abavubuka abasoba mu 50 okuva mu Malaika Apartments mu Ssemwogerero Zone mu Bukoto oluvannyuma lwabarirwana okwekubira enduulu nga bagamba nti babasuzizza ku ttebuukye ekiro kyonna nga balekaana ssaako nokwegandangira mu nkuubo ne mu luggya so nga bano balina abaana.
Kigambibwa nti waliwo omuvubuka eyapangisa wano eyategese House Party nga mwasula musobola okugendamu abantu 8 bokka wabula naleeta banne bayitirivu abakoze ebikolwa ebyesittaza ssaako nokunywa omwenge. Poliisi egamba nti bano bakutwalibwa mu Kkooti olunaku olw’enkya.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.