Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga abebyokwerinda abalwanyisa obutujju bwebakoze ekikwekweto nga 4-11-2021 ku ssaawa nga ttaano n’ekitundu ez’ekiro bwebakoze ekikwekweto ku maka ga Kaggwa Umar abadde akwese omu kubalowoozebwa okubeera omutujju eyategeerekese nga ye Muwonge Yusuf 28 nga ono alina akakwate ku bbomu z’e Komamboga, Ttula Kawempe mu bbaasi ya Swift Safaris.
Amaka gano gasangibwa Kireka Bbira Village, Nakaboga Parish, mu Wakiso. Poliisi egamba nti Muwonge yadduse nga abebyokwerinda tebanakola kikwekweto naleka emabega bbomu enjingirire. Abebyokweringa bagiteguludde nga basanzeemu; ‘electronic detonator’, ‘main charges’, amasasi ga bberingi, emisumaali, amanda, n’ebirala. Eno yabadde yefaananyiriza ezatulikira e Ttula Kawempe, Komamboga ne mu bbaasi ya Swift safaris.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.