Poliisi etandise okunoonya ababba Piki piki mu budde bwa curfew

POLIISI ENOONYEREZA KU BUBBI BWA PIKI PIKI:
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lw’obubbi bwa booda booda okweyongera mu bitundu by’e Ndejje, Poliisi y’e Katwe yatandise okunoonyereza ku ngeri aba booda booda gyebabibwako Piki Piki mu budde bwa curfew.
Mu ngeri eno emotola yatomedde owa Booda booda eyabadde ku luguudo olwo ddereeva ne banne nebavaamu nebatwala Piki piki nebaleka owa booda booda nga alumiziddwa.
Poliisi y’e Katwe egamba nti yakafuna emisango gino 3.
Bwebabadde banoonyereza ku musango gwa Sadiq Bendo ogwa Piki piki nnamba UFF 092W, emotoka nnamba UAS 492W, egambibwa okuba nga ebadde ekozesebwa ababbi yasangiddwa nga eteereddwa mu parking e Ndejje-Lubugumu olunaku lweggulo.
Poliisi yasinzeeko ekitundu era ebintu ebiwerako omuli ejjambiya wamu nembaawo byasangiddwa mu motoka.
Nannyini parking yatutte Poliisi eri bannanyini b’emotoka beyakutte okuli; Robert Mugisha n’omulala Sam Muyomba. Poliisi bweyakebedde ennyumba yaabwe yasanzeemu ebyuuma bya Piki piki.
Poliisi ekyanoonya abalala bebakolagana nabo.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky'ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda.
Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky`ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda.
Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

76 2 instagram icon
Omwogezi w'Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission - UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Omwogezi w`Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission - UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

3 1 instagram icon
Buli lwamukaaga ebeera nguliko sakata, Dj Jet B agenda gukukuba oyite bute!

Buli lwamukaaga ebeera nguliko sakata, Dj Jet B agenda gukukuba oyite bute! ...

2 0 instagram icon
Dorothy Kisaka, David Luyimbazi ne Okello basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4-November-2024.
Bya Christina Nabatanzi 
#ffemmwemmweffe

Dorothy Kisaka, David Luyimbazi ne Okello basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4-November-2024.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
...

6 0 instagram icon