Poliisi etandise kukubwatuka okwabadde e Wandegeya

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo kukubwatuka okwabadde e Wandegeya; “Poliisi y’e Wandegeya etandise okunoonyereza ku kubwatuka okwalumizza abantu 5 nga 24-12-2021 ku ssaawa nga mwenda ogwolweggulo mu Industrial Zone Kagugube, Central Division mu Kampala, Katusiime Muwala wa Jennifer Birungi, agamba nti mukwano gwe eyategeerekeseeko erya Anita ali e Dubai yamuwadde engoye enkadde nti era bwebabadde bazirondamu mu luggya nebalabamu akaccupa ak’ekyuuma nga ka bululu.
Omu ku bazzukulu Poni Elizabeth, yakasudde mu kasasiro wabula omuzzukulu omulala Vanessa nakaggyayo nakayingiza mu nnyumba.
Ku ssaawa ssatu ez’ekiro yatandise okukazanyisa era nakasumulula ekyadiridde kubwatuka nekalumya abantu 5 mu nnyumba.
Abalumiziddwa kuliko; Jennifer Birungi 45, nga ayera nguudo mu KCCA, Harriet Kabasinguzi, 25, Poni Elizabeth 1, Nakandi Mitchell 2, ne Kabasinguzi, wamu ne Birungi. Poliisi etandise okunoonyereza ku wa ekintu kino kyekyavudde. Bano bonna 5 baddusiddwa mu Ddwaliro lya National Referral Hospital, Mulago okufuna obujanjabi.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply