POLIISI ETADDEWO OBUKADDE 20 KU SHEIK ABU:

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyongedde ku kirabo kyeyataddewo eri oyo yenna anabayamba ebitongole byebyokwerinda okuzuula Sheikh ABU UBAIDA BADIR DIIN BUKENYA nga ekirabo kivudde ku bukadde 5 kati buweze 20.
Sheikh Abu kigambibwa nti yakulembera ekiwayi kyabatujju abatigomya eggwanga Yuganda era nga balowooza ensimbi zino ezitereeddwawo zijja kuyamba okukyuusa obulamu bwoyo anabategeeza gyali. Basaba oyo yenna amanyi gyali okukuba ku nnamba zino; 0716-160261, 0717-179622 ne 0715- 411674.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply