poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi asobya ku bakazi bakolako nga yeyita omusambwa

Ekitongole kya Poliisi ya‘Flying Squad’ kikutte omusajja abadde yeegulidde erinnya ng’afera abakazin’abaggyako ssente nga yeefuula ‘Omusambwa’. Godfrey Kato Ssemwanga, omutuuzeku kyalo Buloba Kasero, mu Disitulikiti y’e Wakiso, ye yakwatiddwa n’aggalirwaku Poliisi ya CPS, mu Kampala, ng’avunaanibwa okweyita ky’atali n’afera abantung’abaggyako ssente mu ngeri y’olukujjukujju. Ayogerera ekitongole kyaPoliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza nti, bazzebafuna okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga balumiriza Ssemwanga nemunne John Kimbugwe, amanyiddwanga, ‘Jjajja Kayonza’ okubafera nga befuulaababasawula.

Ssemwanga yategeezezza Poliisinti, bwe yava ewaabwe e Masaka, yakwatagana ne ‘Jjajja Kayonza’ alina essabo e Buloba-Kasero,n’amusomeramu engeri gye bayinza okufunamu ssente nga bayita mukusawulaabalwadde n’okubajjanjaba mu ngeri y’ekinnansi. Ono era yagasseeko nti,yasalawo n’aleka mukaziwe e Masaka n’abaanabe babiri n’asalawo okuyingiraomulimu gw’okukola ng’omusambwa okusobola okweyoolera ku ssente ez’obwerere.

“Abalwadde bwe bajja jjajja Kayonza gwe basisinkana emisana wabula webamala okumubuulira ebizibu byabwe ng’abalagira baddeyo oluvannyuma bakomewo obudde nga buzibye asobole okubakolako nti kuba ‘Omusambwa’ lwegujja okubaawo, ng’olwo ategeeza nze,” Ssemwanga bwe yategeezezza.

Yagaseeko nti, buli mulwadde by’aba amubuulidde nga yakatuuka, olumusiibula ng’abiyitiramu ‘Omusambwagwe’ gusobole okubikwata ng’omulwadde bw’aba akomyeewo ku ssaawa endagaane, ‘Omusambwa’ guba gusobolera ddala okukyuusakyuusa  amaloboozi nga bwe guddamu ebigambo by’ennyini ebituukira ku bwetaavu bw’omulwadde.

Ssemwanga yategeezezza nti abakazi be basinga okubettanira naddala abo, ababa baagala okufuna obufumbo, okubunyweza, okufuna oluzaalo, okusiraanya bajja baabwe, abaagala okuganja mu bantu, n’okufuna Visa.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky'ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda.
Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Omusirikale wa Uganda Police Force okuva mu kitongole ky`ebidduka ku Poliisi ya Kira Road Police Constable Tusiime Abdullah, asiimiddwa Inspector General of Police olwokweeyo mu mbeera yonna okuweereza Bannayuganda.
Tumusiime yakwatibwa ku katambi ngayambako ebidduka ebyali mu kalippagano ngenkuba etonnya wiiki eyise.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

76 2 instagram icon
Omwogezi w'Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission - UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Omwogezi w`Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bifulumizibwa ku mpewo ekya Uganda Communications Commission - UCC Ibrahim Bbosa agamba nti bakyasanga obuzibu okunoonya abafere abayingira mu mikutu gya Lediyo nebatandika okufera abantu.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

3 1 instagram icon
Buli lwamukaaga ebeera nguliko sakata, Dj Jet B agenda gukukuba oyite bute!

Buli lwamukaaga ebeera nguliko sakata, Dj Jet B agenda gukukuba oyite bute! ...

2 0 instagram icon
Dorothy Kisaka, David Luyimbazi ne Okello basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4-November-2024.
Bya Christina Nabatanzi 
#ffemmwemmweffe

Dorothy Kisaka, David Luyimbazi ne Okello basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 4-November-2024.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe
...

6 0 instagram icon