Poliisi ekutte omukyala eyalabikidde mu katambi ngakuba omwana

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kira Road mu Kampala bweyakutte Deborah Apolot eyalabikidde mu katambi ngakuba omwana omulenzi eyategeerekese nga mutabani we Mark Omiat 10.
Ono yakwatiddwa ekiro kyajjo ku ssaawa ssatu ezekiro, nategeeza nti ku makya olunaku lwaggyo yawadde Mark 5000 okugenda agule ebintu wabula teyakomyeewo, ekyamuleetedde okumunoonya namuzuula. Maama ono yakirizza nti yakomye omwana ono nga agezaako okumugunjula.
Share.

Leave A Reply