POLIISI EKUTTE MAAMA EYATUNZE OMWANA OKUMUSADDAAKA KU BUKADDE 2 NEKITUNDU NEBAMUWAAKO OMUTWALO GUMU

Uganda Police Force y’e Mukono ekutte Maama eyatunze omwana we wa myezi 9 eri Abasawo bekinnansi okumusaddaaka. Akiteng Hellen yakwatiddwa Poliisi kubigambibwa nti yatunze omwana we nebamusalako omutwe ekiwuduwudu nebakisuula mu kabuyonjo.
Abasawo bekinnansi 3 okuli; Ssemujju Ronald, Kizito Alex ne Fred bakwatiddwa kubyekuusa ku ttemu lino.
Akiteng agamba nti bamuwaddeko omutwalo gumu gwokka ku nsimbi obukadde obubiri n’ekitundu bwebamusuubizza nga yabadde alina okubawa abaana 2.
Ekiwuduwudu kyasangiddwa mu kabuyonjo okuva ku kyalo Busoke.
📸 Courtesy Photo
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply