Poliisi ekutte abantu 7 abateeberezebwa okubeera abatujju

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Ekitongole kya Poliisi ekya Directorate of Crime Intelligence nga kikolera wamu n’ekya Counter-terrorism ekirwanyisa obutujju, byakoze ekikwekweto e Lukaya ku bifo bibiri ebisuubirwa okuba nti abatujju babadde babikozesa okwekwekamu. Bino bisangibwa e Lukaya – Kalungu ne ku kyalo Bulo mu Disitulikiti y’e Butambala nebakwata n’abantu 7. Bano bwebabuuziddwa bakirizza nti basendebwasendebwa okukola obulumbaganyi ku basirikale n’abakungu mu Ggwanga nga eyabasikiriza y’e Imam Sulaiman Nsubuga, owa Lweza ADF Cell, eyadduka.
Tukimanyiiiko nti babadde bateeka obulumbaganyi ku bebyokwerinda. Wadde nga ttiimu zaffe zisanyalazza aba ADF, waliwo abamenyi b’amateeka mu ggwanga nga nabawagira obutujju nabo bafunze ekyonga okulaba nti baddamu okuteekawo enkambi. Enkambi zaabwe tezibeera mu kifo kimu okusinziira ku kiruubirirwa kyabwe.
Wadde nga kati ziweze enaku 80 bukyanga balumiramwoyo bitulisiza ku CPS ne Parliamentary Avenue, tulina amawulire agalaga nti abatujju betegese okuddamu okukola obulumbaganyi okulaga nti gyebali. Baagala kukozesa bamuliramwoyo okulumba abakungu n’abasirikale babakube amasasi nga bakozesa emmundu ekika kya AK47 SMG nga batambulira ku booda booda wamu nabetulisizaako bbomu.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply