Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 330 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Poliisi ekutte 4 e Koboko lwakwongezza bisale bya bintu

March 25, 2020 · Mubiru Ali

Poliisi mu kibuga ky’e Koboko ekutte abasuubuzi 4 abakozesezza okubalukawo kw’ekirwadde kya COVID-19 nebongeza ebisale by’ebintu.
Abasirikale ba Poliisi nga bakulembeddwamu RDC w’e Koboko Capt. Yahaya Kakooza bagaddewo amadduuka nebakwata Abayindi 3 ne Munnayuganda omu ababadde bongezza ebbeeyi y’omunnyo, sukaali n’ebintu ebirala.
Bano bakwatiddwa oluvannyuma lw’abatuuze okwemulugunya.
Bano kuliko nannyini; Lila-D-Keshwala enterprise, home brother’s investment ne Paul enterprise, nga babadde batunda saketi y’omunnyo ku shs 3,000 okuva ku 700.