Poliisi egamba nti Sipapa yenyigira mu bubbi obulala 12

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekikola kukunoonyereza ekya CID bwekizudde nga Charles Olimi aka Sipapa nti yenyigira mu misango emirala 12 egyobubbi oluvannyuma lwokumuggyako endagabutonde n’ebinkumu nebikwatagana nebyo ebyagibwa mu bifo webabba.
Kino kitegeeza nti Sipapa yali omu ku bantu abenyigira mu bubbi mu bifo okuli; Bugolobi, Kabalagala, Kira road, Jinja road, Kiwatule, Ntinda ne Kyanja Jomayi, wamu n’ebitundu ebirala.
Emisango gino yagizza wakati wa 2014 – 2022.
Share.

Leave A Reply