Poliisi efumbekeddemu ‘kawukuumi’ – ACP (Rtd) Sam Omara

Eyaliko Assistant Commissioner of Police mu Uganda Police Force ACP (Rtd) Sam Omara avuddeyo nategeeza nti Poliisi ya Yuganda efumbekeddemu kawukuumi. Ono agamba nti Poliisi gyeyali akolera yekobaana n’abamenyi b’amateeka okutigomya Bannayuganda, era ngayagala IGP Martins Okoth Ochola asitukiremu bunnambiro akikoleko.
Omara agamba nti obulamu bwe buli mu matigga. Ayongeddeko nti yali tasobola kwogera ku buli bwanguzi nga ali mu Poliisi kuba yali takirizibwa kukikola. Yegeraageranyizza ku mugenzi Kirumira eyavaayo nayogera ku buli bw’enguzi mu Poliisi nattibwa.
“Najja mu bulamu bw’ensi eno nga 1-March-1960, simanyi nti obulamu bwange bwebuliggwawo, ntiddemu naye sitidde nnyo.”
Leave a Reply