BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi e Mukono eremesezza Sobi okusengule omukadde ku ttaka

Uganda Police Force e Mukono olunaku lw’eggulo yalemesezza Paddy Sserunjogi aka Sobi okusingelu omukadde ow’emyaka 94 okuva ku ttaka lye e Nakisunga mu Disitulikiti y’e Mukono.
Sobi eyavaayo nakyatula nti yomu kuba Kifeesi abatigomyanga Kampala, kigambibwa nti yagenze n’abantu 30 mu maka ga muzeeyi Musa Mwanje nga baagala okumusindiikiriza ave ku ttaka lye eriwereza ddala yiika 5 ku biragiro bya Fulgensio Ssembajwe agamba nti yalabirira ebintu bya John Lule Ssebakijja mulirwana wa Mwanje.
Sobi agamba nti nga Ssebakijja nga tanafa yagula yiika 20 okuva ku Mwanje, wabula nafa nga tebanamaliriza kukyuusa bwannanyini. Sobi agamba nti bamusuubizza okumuwa yiika 10 ku zino 20 singa anamaliriza omulimu gwokukuba olukomera ku ttaka nga baligiggye ku Mwanje.
Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Ssebakijja, Ssembajwe yaddukira mu Kkooti nafuna ekiragiro kya Kkooti nga September 2015 nga kimukiriza okukozesa ettaka lino.
Okusinziira ku Mwanje, agamba nti mu 2015 Sobi yamuleetera ekiragiro kya Kkooti namweyanjulira ng’omusirikale w’eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya ‘Special Forces Command’ (SFC) ngera baali bamupangisizza okwerula ettaka lino Mwanje agamba nti okusooka yalowooza nti byakusaaga kuba yali alina ebyapa bye byonna nga biri mu mannya ge okutuusa Sobi bweyatandika okusala emiti egyali ku ttaka lye, ensuku ze wamu n’okusaawa omusiri gwe ogwa lumonde.
Mwanje agamba yategeeza mutabani namusaba addukire mu Kkooti eyise ekiragiro ekiyimiriza ebikolwa bino ku ttaka lye. Mwanje yafuna ebyapa bye mu 1960 ku ttaka erisangibwa ku Block 221 Plot 118 Kyaggwe.
Mwanje agamba nti Sobi ne banne bayonoona ennyumba ye, ng’ennyumba eno yazimbibwa Mutabani we omugenzi Meddie Muyanja eyali omukuumi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
OC wa Poliisi y’e Mukono, Micheal Kato ne Ssentebe wa LC1 Joseph Ssenkungu bayise olukiiko lw’ekyalo mwebasomedde ekiragiro kya KKooti ekyayimiriza byonna ebikolebwa ku ttaka lino.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply