Poliisi e Kyegegwa etandise ku ssemaka eyasse mukyala we

Uganda Police Force e Kyegegwa etandise okunoonyereza ku ssemaka, Innocent Kibwetere eyasse mukazi we kubigambibwa nti abadde akozesa enkola yakizaala ggumba. Kigambibwa ono oluvannyuma lw’okukizuula obusungu bwamutikka naakuba mukyala we Ronious Twikirize akabalangulo ku mutwe omulambo gwe naagubika mu buliri okumala ennaku 4. Oluvannyuma lwe bbanga lino ono yayita mulamu naamutegeeza nga bweyasse muganda we bwebafunyemu obutakkanya nga abafumbo. Ono yakebereddwa nekizuuka nti mulamu era omutwe gukola bulungi

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply