OWEK. NABBOSA BATULABIRE – PATRICK OBOI AMURIAT

Pulezidenti wa Forum for Democratic Change – FDC Patrick Oboi Amuriat avuddeyo ku kya Muky. Joyce Nabbosa Ssebugwawo; “Bannakibiina kya FDC, mbalamusizzaako era nina obubaka okuva e Najjanankumbi.
Nga bwemwakitegeddeko nti Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo eyaliko omumyuuka wa Pulezidenti wa FDC yalonddeddwa ng’omubeezi wa Minisita mu Gavumenti ya nakyemalira. Nkakasa nti akirizza ekifo kino ekimenya akawayiro 12 aka Ssemateeka wa FDC. Nabwekityo abeera takyali mmemba wa FDC era abadde asuddewo ekifo kye ng’omumyuuka wa Pulezidenti wa FDC.
Tumusiima olwemirimu gye n’okwekwayo Owek. Ssebuggwawo kwawaddeyo okulaba nti ekibiina kikola okusukka mu myaka 20. Byeyerekerezza mu byobufuzi okulaba nti tubeerawo yabyeyononedde naddala mu kaseera wetubadde tumwetaagira nnyo okulaba nti tufuna enkyuukakyuuka.
Okusalawo kwe okwabulira ekibiina yegatte ku nnakyemalira akikoze nga muntu so ssi nga FDC era teyatwebuzizaako. Kati yegasse ku banne abatulekawo edda naye akimanye nti atulese tuli ggulugulu n’okusingawo.
Nkimanyi bulungi nti okugenda kkwe wadde kuluma naye ekibiina tekigenda kuggwa wabula kitwongedde maanyi kukola nnyo okutuukiriza ebiruubirirwa byaffe.
Nkuubiriza Bannakibiina obutalumba Owek. Ssebuggwawo kuba tekirina kyekyongera ku kibiina n’ekiruubirirwa kyakyo ate sinkola ya FDC.
Nga maze okwebuuza ku bonna mu FDC ngenda kulonda agenda okugira ngamuddira mu bigere mu wiiki bbiri ezijja.
Eri Maama Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, nkwagaliza buwanguzi mu byonna era nsuubira ojjakubaako kyokolera eggwanga mu kifo kyo kino ekiggya.
Enzigi za FDC zisigadde nzigule gyoli nayenna eyatwabulira bwemuba mwagala okuuda tubaaniriza.
Katonda abeere nammwe.
One Uganda One People.
Patrick Oboi Amuriat
Pulezidenti”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply