Owa NUP eyabuzibwawo e Mukono bamusudde mu kibira

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Eyesimbyeewo ku kifo kyobwa Councillor owa Nagojje mu Namataba Town Council mu Disitulikiti y’e Mukono ku Kkaadi ya National Unity Platform- NUP Nakidde Mariam nga nakawere wa wiiki 3 abadde yabuzibwawo bamusudde mu Gombolola erinaanye mwabeera nga ali mu mbeera mbi ddala.
Nakidde yawambibwa ku ssaawa ssatu ez’ekiro ekyakeesa olunaku olwa mmande abantu abatanategeerekeka abamutulugunyizza oluvannyuma nebamusuula mu kibira ku kyalo Kikubankima bwebakizudde nti abadde akyayonsa. Ono agamba nti abadde abuuzibwa ku nkiiko za Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine zatuuza ono zatamanyiiko.

Share.

Leave A Reply