Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 438 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Oulanyah yasirikira obulwadde osanga twandimuyambye – Ssaabalamuzi Dollo

April 7, 2022 · Mubiru Ali
Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo; “Singa muganda wange yali mwanjulukufu, osanga twandibadde tetukungaana wano olwaleero. Kyabuntu okulwala, bwetumanya nti tulinamu enkenyera kiba kirungi tugende mu balina okutujanjaba. Muganda wange yakiriza nti agenda. Omumyuuka wa Sipiika mukaseera ako nankubira nangamba nti Jacob Oulanyah agaanye okugenda mu Ddwaliro nga toliiko. Bwenatuuka mu maka ge, yayimba luyimba lwakuziika naye nemugamba nti olimba.
Namuwakanya nemugamba nti ‘Taata wo namugamba ki ngofiiridde mu nnyumba, nzize wano okukutegeeza nti tulina okugenda mu Ddwaliro’. Yakiriza netumutwala mu Ddwaliro. #RIPOulanyah